CID: Christian Investigation Department

Tuli basanyufu nnyo wano ku “Abaana Kikulu” okukuwa omwaka omulamba omulala ogw’amasomo ga Ssande Sikuuru oba okutendekebwa mu Baibuli okwa buli wiiki kw’osobola okuwa abaana mu kkanisa yo oba mu kitundu kyo. Mu nteekateeka eno, abayizi bo bajja kuba ng’abakungu ba CID oba abakugu mu kunoonyereza era baweebwe omusango ogw’okunoonyerezaako buli wiiki. Nga bwe kiri mu kazannyo ka TV akayitibwa “CID” oba “Ekitongole ky’Ekikristaayo Ekinoonyereza”, abayizi bo abamu bajja kuba bakugu ba Poliisi mu kunoonyereza abalala nga bakakeensa abakuba ebifaananyi n’okwekenneenya nga bwe bakola ku buli musango. Kozesa amagezi go otimbe ekibiina kyo ng’ekisenge kya bakakensa oba laabu era n’abasomesa bo abamu bambale nga bannassaayansi n’abalala bambale ng’abaserikale abanoonya obujulizi.

Languages