Abatendesi

Tulina ekyewuunyisa gy'oli. Oyinza okuba nga weewandiisa kubeera musomesa wa Ssande Sikuuru, naye omulimu gwo kati oli MUTENDESI! Guno omwaka tugenda kusoma Baibuli nga tutambulira ku muzannyo gw'ebikonde era tusuubira okunyumirwa eby'emizannyo. Omusomesa omwagalwa, tandikirewo kaakati! Beera omutendesi so si musomesa kisobole okukuwa amaanyi okufaayo ennyo eri buli muyizi ali mu kibiina kyo n'enkola ye nga bw'alwana okufuuka omuwanguzi.

Obubinja Obutono

Kola obubinja bw'abaana 3-7. Buli kabinja ketaaga omutendesi. Abatendesi tebetaaga kujja mu kibiina buli ssabbiiti naye balina okukebera ku bayizi oba "abazannyi" baabwe buli ssabbiiti. Funayo omu ku bakulembeze omufuule omutendesi omukulu era akole omulimu ogw'okukunga abatendesi abalala.

Ekibiina kyo kyawulemu obubinja obutono abayizi bo basobole okukola obulimu bwa buli ssabbiiti. Enteekateeka za ssande sikuuru ezisinga zibeera ku kkanisa era tezetaagisa bulimu bwa kutwala waka. Naye abayizi bo tebasobola "kukuba eri" byonoono nga bayita mu kusoma kwokka. Balina okuyingira "Mu Lingi" ne balwanyisa ebibi bye basanga mu ssabbiiti. Mazima bwe wataba abalondoola, kino kiba tekijja kusoboka. Tomala gakkiriza bwe bakugamba nti obulimu baabukoze. Bw'olagajjala eri enteekateeka eno, ojja kuba otendeka bayizi bo kukulimba. Naye, tebeerezaamu nange singa mubutuufu otendeka abayizi bo era n'okakasa nti bakola obulimu bw'obawadde, ojja kulaba enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Mu mwaka gumu gwokka, ojja kukyusa obulamu bwabwe. Abayizi bo bajja kuba nga tebakwatabukwasi ekibala ky'Omwoyo wabula bajja kuba nga BAKITAMBULIRAKO!

Okutambuza obubinja buno, tukoze obutabo bw'abatendesi n'akatabo k'omutendesi omukulu. Obutabo bw'abatendesi buli kamu ka mwezi gumu n'ekibala kimu eky'Omwoyo. Omutendesi omukulu ye akataboke kalimu obulimu obw'ekitundu kiramba eky'emyezi 3.

Obuvunaanyizibwa bw'abatendesi

Omutendesi:

  • Tendeka abaana 3-5.
  • Sisinkana abayizi eddakiika 5 ng'ekibiina tekinnatandika n'oluvannyuma lwa kyo buli ssabbiiti osobole okubazzaamu amaanyi okuba abawanguzi.
  • Kuba essimu oba weereza obubaka eri abayizi okubajjukiza okukola obulimu. (Kikole olwokubiri)
  • Kuba essimu oba weereza obubaka eri abayizi omulundi ogwokubiri bakubuulire nga bwe bitambula. (Kikole olwokutaano)
  • Laba entambula y'emirimu mu kibinja kyo era otegeeze omutendesi omukulu buli ssabbiiti.

Omutendesi Omukulu:

  • Sisinkana abatendesi eddakiika 5 ng'ekibiina tekinnatandika n'oluvannyuma lwa kyo buli ssabbiiti okwogera ku by'okukola n'okubazzaamu amaanyi okutendeka abayizibi baabwe.
  • Kuba essimu oba weereza obubaka eri abatendesi okubajjukiza omulimu. (Kikole olwokubiri)
  • Kuba essimu oba weereza obubaka eri abatendesi omulundi ogwokubiri bakubuulire nga bwe bitambula. (Kikole olwokutaano)
  • Laba entambula y'emirimu eya buli mwana.
  • Tegeka enkiiko z'abatendesi n'ab'amaka gaabwe ezizzaamu amaanyi buli mwezi.

Okuwandiika Abatendesi

Kiyinza okuwulikika nga ekikalubo okuwandiika abakulembeze osobole okuba n'abatendesi abamala obubinja bwo. Naye, kino tekyetaaga kuba kizibu. Zino z'ezimu ku ngeri ez'okugonzaamu okufuna abatendesi:

  • Abatendesi basabe okukola omwezi gumu gwokka. Omwezi gumu gukwata ku kibala kimu eky'Omwoyo. Abantu abakulu bw'oba obasaba akadde kabwe, omwezi gumu abasinga bajja kuba bagusobola. Singa ekintu okifuula ekyangu ate nga kinyuma, bajja kwagala okuddamu okwewandiisa ku nkomerero y'omwezi!
  • Abatendesi baleke bajje ku kkanisa nga bulijjo naye basabe bajje nga wabulayo eddakiika 10 okusaba kutandike basobole okusisinkana abayizi baabwe. Abatendesi bo bayinza okujja mu ssande sikuuru mulundi gumu mu mwezi naye essabbiiti endala ne bagenda okusabira mu kkanisa nga bulijjo.
  • Abaana basindikire obubaka ku ssimu mu kifo ky'okubakubira. Abatendesi bo bayambe okutegeka obubaka bw'omwezi mulamba kibanguyize okuwuliziganya n'abayizi baabwe. Tewerabira nti basobola n'okukozesa Facebook, Twitter, WhatsApp n'ebilala.
  • Funa ekifo ku kkanisa abatendesi we basobola okutereka ebintu ebitonotono. Okufaanana nga ab'eby'emizzanyo abatendesi basobola okwambala enkofiira ne babeera ne ffirimbi n'eccupa z'amazzi. Mu kifo ky'okujjukira okutambula nga n'ebintu bino leka babitereke ku kkanisa. Mu ngeri eno abatendesi bo bambale engoye zabwe ezabulijjo ez'okusabiramu oluvannyuma bateekeko butesi ebyo bye twogeddeko okufaanana ng'abatendesi.
  • Kakasa nti olukiiko lw'abatendesi olwa buli mwezi luba lwa njawulo era nga luzzaamu amaanyi. Kino kijja kusikiriza abatendesi okusigala nga benyigira mu nteekateeka eno buli mwezi.
  • Bwe kiba kyetaagisa, kkiriza ebibinja ebinene. (Bwokozesa Facebook osobola okuwuliziganya n'ekibinja kyonna era omuntu omu asobola okutendeka abayizi 10.)
Obutabo Bw'abatendesi Abawanguzi
Obutabo Bw'abatendesi 1

Bya kutereka ku kompyuta.

Buno buwe abatendesi bonna; kamu ka buli mwezi. Ekitundu 1: Okwagala, Essanyu, Emirembe

Enkiiko Ezizzaamu Amaanyi

Omulimu gw'omutendesi omukulu gwa kukuuma abatendesi nga bacamufu. Engeri enkulu ey'okukola kino kwe kutegeka olukiiko buli mwezi. Musobola okulya emmere, ne musabira wamu era ne mutunula ne ku mawulire agakwata ku by'emizannyo okulaba bwegayinza okutuyamba mu bulamu bw'ekikulistaayo. Musobola n'okutunulira omuddusi wa Olympics oba ne mulaba firimu ekwata ku by'emizzanyo nga bwe mulya ku mberenge oba eby'okulya ebilala. Yogeramu n'abatendesi bo ku nsonga eno: nti bwe kiba nga kigwana nnyo abazannyi okukola ennyo, lwaki naffe tetukolerera nnyo eby'omwoyo n'okuganyulwa okw'emirembe n'emirembe?

 

Obutabo Bw'abatendesi Abawanguzi 2
Obutabo Bw'abatendesi 2

Bya kutereka ku kompyuta.

Buno buwe abatendesi bonna; kamu ka buli mwezi. Ekitundu 2: Obuguminkiriza, ekisa, obulungi.

Obutabo Bw'abatendesi Abawanguzi 3
Obutabo Bw'abatendesi 1

Bya kutereka ku kompyuta.

Buno buwe abatendesi bonna; kamu ka buli mwezi. Ekitundu 3: okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza.