Mu Lingi

Abayizi bo bwe babeera wabweru mu nsi, baba bali "mu lingi"! Eno gye bajja okulwanyisiza obwagazi bw'okwonoona. Amaka gaabwe n'amasomero z'empaka n'ennwana z'ebikonde. Kino kiri bwe kityo kuba bwe tubeera ku kkanisa ffena tuba twefuula batuukirivu. Toleka mwana yenna kulowooza nti asinze omuzannyo mbu lwa kuba akwata nnyo eby'okusoma ku kkanisa. Okwo kuba kutendekebwa. Okulwana okutuufu kuli mu bulamu bwe. Asobola okuwangula emizannyo singa ateeka mu nkola emisomo gy'aba ayize mu ssabbiiti.

Obulimu bwa buli Ssabbiiti

Mwogere ku kalimu k'okutwala awaka aka ssabbiiti ewedde era obawe aka ssabiiti eddako. Obulimu buno buli mu bitabo by'abayizi ne ku kaadi z'emizannyo. Abayizi bo bajjukize nti abo bokka abakola obulimu buno beebasobola okufuuka abawanguzi. Tewali kuffe ajja kufuuka muwangunzi lwa kugenda mu kkanisa n'okukwata Baibuli wabula tulina kugikolerako. Tukusaba okole obubinja obutonotono obuwe abatendesi abajja okuyamba okulondoola abayizi mu kukola obulimu buno.(Laba ebisingawo mu katundu akakwata ku bubinja.)
Okukola akalimu k'awaka omulundi gumu mu ssabbiiti tekijja "kukuba eri" kibi nga eng'uumi emu bw'etasobola kusuula ku ttaka omuzannyi w'ebikonde. Eky'okulabirako kino kijja kulaga abayizi nti bwe baba baagala kufuuka abawanguzi balina okukasuka eng'uumi eziwera mu buli ssabbiiti. Abatendesi bagambe okulondoola eng'uumi abaana ze bakasuka mu ssabiiti era baletewo okuvuganya. Buli bw'okola akalimu akakuweereddwa eyo eba ng'uumi. Okunyumisa ekintu, kozesa bino ebika by'eng'uumi: jaabu, huuku, kurosi ne apakaati.

Kaadi Z'emizannyo

Gaba ekirabo ky'okujjumbira nga eno ye kaadi eriko olulwana lwa ssabbiiti eyo. Abayizi bo baagazise okujjanga mu ssande sikuuru okumala omwaka mulamba era okung'aanye kaadi zaabwe ku nkomerero yagwo. Kaadi zino osobola okuzifuna ku mukutu gwaffe era ne bazikukubira ku kasente akatono.Kaadi zino osobola n'okuzikozesa okuzannya akazannyo k'okujjukira nga bw'otabaganya obulimu obugendera ku kibi.