Mu Bimpimpi

Tujja kuba nga tusoma ekibala ky'Omwoyo. Wabula, si kutunuulira kibala kyokka, naye n'ebyonoono by'omubiri ebilwanyisa ekibala ky'Omwoyo. Omulimu gwo kuyamba abayizi bo okufuuka abawanguzi. Okukola kino, tebalina kukwata bukwasi nyiriri n'okuyiga engero za Baibuli, wabula balina n'okuteeka mu nkola ekibala ky'Omwoyo mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.

"Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka." Abaggalatiya 5:22-23

Ekitundu 1

Essomo 1

Okwagala vs. Okweyagaliza Wekka
Olugero lwa Baibuli: Yesu afa ku musaalaba
Matayo 27:27-56

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Ku kino kwe tutegeerera okwagala, kubanga oyo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe: naffe kitugwanira okuwangayo obulamu bwaffe ku lw'ab'oluganda." 1 Yokaana 3:16

Mu Lingi

Zannya akazannyo mikwano gyo ke banaaba basazewo, mu ssaawa gye bakagalidde (bw'oba olina olukusa) ate okazannyire ebbanga lyonna lye bagala. Tobagamba kiki ggwe ky'oyagala kuzannya. Ku mulundi guno ky'oyagala si ky'amakulu kuba osazewo okulaga OKWAGALA okwa nnamaddala nga tewelowoozezzaako.

Essomo 2

Okwagala vs. Okulamula Banno
Olugero lwa Baibuli: Akafuufu n'olubaawo
Matayo 7:1-5

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Temusalanga musango, muleme okusalirwa.Kubanga omusango gwe musala gulibasalirwa nammwe: era ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa nammwe." Matayo 7:1-2

Mu Lingi

Gamba omuntu yenna nti “okoze omulimu omulungi” era obayozeeyoze olw'ekirungi ky'olaba. Tambula n'akalabirwamu mu nsawo yo nga buli lw'owulira ng'oyagala okulamula omuntu yenna, okaggyeyo okatunulemu. Beera nga wejjukanya nti teweetaaga kugolola nsobi z'abantu.

Essomo 3

Okwagala vs. Obukyayi
Olugero lwa Baibuli: Yuda alya mu Yesu olukwe
Matayo 26:14-16

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Omuntu bw'ayogera nti Njagala Katonda, n'akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw'atalabangako tayinza kumwagala." 1 Yokaana 4:20

Mu Lingi

Kolera omuntu gw'otayagala ekirungi. Kuuma akalimi ko bw'olaba omuntu ng'alimba oba ng'anaatera okugwa mu nsobi. Tomuloopa oba okumuleetera emitawaana.

Essomo 4

Okwagala vs. Okwekaza
Olugero lwa Baibuli: Olugero lw'omusamaliya
Lukka 10:25-37

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka." Lukka 10:27

Mu Lingi

Yimirira oyambe omuntu ali mu bwetaavu essabbiiti eno era weesambe ebyekwaso byonna by'oyinza okuwa obuta muyamba. Kolera omuntu ali wansi wo mu kitiibwa ekintu eky'omuwendo.

Essomo 5

Okwagala vs. Okwekuluntaza mu By'omwoyo
Olugero lwa Baibuli: Dawudi alondebwa nga kabaka
1 Samwiri 16:1-13

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza; tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima; kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriziza byonna." 1 Abakkolinso 13:4-7

Mu Lingi

Saba Katonda oba waliwo ekikolwa eky'omwoyo ky'olina okuleka osobole okussa essira ku KWAGALA. Kola ebikolwa bingi ssabbiiti eno ebiraga okwagala: teweewaana, kola ekirungi eri abalala so si gy'oli, ate tolondoola nnyo bibi bantu byebaba bakukoze.

Essomo 6

Essanyu vs. Obuggya
Olugero lwa Baibuli: Abakulembeze b'eddiini balina obuggya
Ebikolwa 5:12-33

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Kubanga mukyali ba mubiri: kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu?" 1 Abakkolinso 3:3

Mu Lingi

Weebaze Katonda olw'ebirabo eby'omwoyo, endabika, eby'obugagga n'abekika b'olina. Saba Katonda akuwe essanyu n'obumativu mw'ekyo ky'olina. Londa omuntu gwe walinako ensaalwa omuwe ekirabo. (Naye tomubuulira ku nsaalwa eno.)

Essomo 7

Essanyu vs. Omululu
Olugero lwa Baibuli: Omuvubuka omugagga
Matayo 19:16-30

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo."
Lukka 12:15

Mu Lingi

Waayo ezimu ku ssente zo eri Katonda mu kabbo ku kkanisa nga tomanyi zinagenda w'ani. Kozesa ku ssente zo mu kuweereza omuntu omulala. Bw'oba tolina ssente funa ekimu ku by'obugagga byo okiweeyo.

Essomo 8

Essanyu vs. Okwekubagiza
Olugero lwa Baibuli: Yona n'olusiring'anyi
Yona 4:1-10

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n'emirembe; ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika: kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe." 2 Abakkolinso 4:17-18

Mu Lingi

Weereza mu bifo ebisulwamu bamasiikiini oba ku busumba obuliisa abanaku. Oba, osobola okulambula abalwadde mu ddwaliro. Saba Katonda abikkule amaaso go eri ekifaananyi ekinene era akuyambe obutetunulira ggwe wekka.

Essomo 9

Essanyu vs. Obutasiima
Olugero lwa Baibuli: Yesu awonya abagenge kkumi
Lukka 17:11-19

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Muyingire mu miryango gye n'okwebaza, Ne mu mpya ze n'okutendereza. Mumwebaze, mukuze erinnya lye." Zabbuli 100:4

Mu Lingi

Weebaze bazadde bo (oba omuntu omulala) olw'ekintu kye bakuwa buli lunaku. Salawo okwerekereza ekintu kyonna osobole okujjukira nti osanga wali bawo akaseera nga tokirina.

Essomo 10

Emirembe vs. Obweraliikirivu
Olugero lwa Baibuli: Eriya aliisibwa bannamung'oona
1 Bassekabaka 17:1-6

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n'obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako."
Matayo 6:33

Mu Lingi

Gabana ky'olina n'omuntu omulala, ne bwe kiba kitegeeza nti ggwe ojja kusigala nga tolina. Eyinza okuba emmere, engoye, ssente oba ekintu kyonna ekigula ssente. Saba Katonda akumalire ebyetaago byo.

Essomo 11

Emirembe vs. Okutya
Olugero lwa Baibuli: Peetero atambulira ku mazzi
Matayo 14:22-33

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; so singa tewali kigambo kye mutayinza. Naye kyokka eky'engeri eno tekiyinza kuvaawo awatali kusaba na kusiiba." Matayo 17:20-21

Mu Lingi

Londa ekintu ekiringa ekitasoboka era oteeke ebbali okutya kwo. Saba Mukama Yesu akuyambe okukikola era otandike emitendera gya kyo. (Buba buwanguzi okutandika obutandisi ne bw'oba obbidde nga Peetero. Omulimu guli mu kusalawo ekintu ekiringa ekitasoboka era n'ogezaako okukikola.)

Essomo 12

Emirembe vs. Obutakkaanya
Olugero lwa Baibuli: Okussaayo ettama eryokubiri
Matayo 5:38-42

Olunyiriri Lw'okujjukira

"Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna." Abaruumi 12:18

Mu Lingi

Kiriza abantu bakukoleko ensobi ssabbiiti eno. (Ebiseera ebisinga kijja kubawo kyokka.) Omulimu gwo ggwe butabakola kintu kyonna.

Essomo 13

Emirembe vs. Okwekkiririzaamu
Olugero lwa Baibuli: Yesu aliisa abasajja enkumi ttaano
Lukka 9:10-17

Olunyiriri Lw'okujjukira

"N'ang'amba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze." 2 Abakkolinso 12:9

Mu Lingi

Saba Katonda omukisa gw'okumuweereza mu kintu ky'olinamu obunafu. Weewandiise mu kkanisa yo okuweereza mu kintu ekyo. Bw'oba oli musirise, yogerako nnyo ssabbiiti eno ate bw'oba oyogera nnyo, sirika ko ssabbiiti eno.


Ekitundu 2

Essomo 1

Obuguminkiriza vs. Obutagumiikiriza
Olugero lwa Baibuli: Ennyana eya zzaabu
Okuva 32

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Nga muyinzisibwanga n'obuyinza bwonna, ng'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka." Abakkolosaayi 1:11

Mu Lingi

Wandiika mu ttaka ekintu Katonda ky’akukoledde mu biseera ebiyise omale ekifo ekyo okisseeko akayinja ng’akabonero. Kino mukikole ku kkanisa, buli muyizi akole akafo ke ek’enjawulo, amale akole akalala awaka mu wiiki. Bw’omaliriza okussa akabonero ku kafo ko, baako omuntu gw’obuulira kiki Katonda kye yakukoledde.

Essomo 2

Obuguminkiriza vs. Ennaku
Olugero lwa Baibuli: Yobu agumiikiriza mu kubonaabona kwe
Yobu 1-2

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza." Zabbuli 119:50

Mu Lingi

Wandiikira Katonda ng’omwebaza olw’ekintu ekikubonyaabonnyezza. Gezaako okwogera nga Yobu bwe yagamba, "Mukama y’awa, era Mukama y’aggyawo; erinnya lya Mukama lyebazibwe." Wa obujulizi eri banno mu kibiina bw’oba osobola.

Essomo 3

Obuguminkiriza vs. Amalala
Olugero lwa Baibuli: Kabaka Nebukadduneeza
Danyeri 4

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Enkomerero y'ekigambo esinga obulungi okusooka kwakyo: alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw'amalala." Omubuulizi 7:8

Mu Lingi

Kola ebintu ebikufuula omwetoowaze. Osobola okuwa omuntu ekifo kyo mu lukalala, okwewala okulaba firimu omuli abantu ab’amalala, okuwaayo ekifo kyo ku siteegi oba mu maaso g’abantu, oba okuleka abalala ne baba abatuufu.

Essomo 4

Obuguminkiriza vs. Obusungu
Olugero lwa Baibuli: Dawudi, Nabali ne Abbigayiri
1 Samwiri 25

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe." Abaefeeso 4:26

Mu Lingi

Gulayo ebintu ebitonotono eby’okugaba ng’ebirabo. Buli lw’onyiiga, wa omuntu gw’onyiigidde ekirabo. Gezaako okweggyamu obusungu ng’oyita mu kugabira abantu ebirabo. Ojja kulaba ng’obuguminkiriza bwo bweyongera.

Essomo 5

Obuguminkiriza vs. Okwegwanyiza
Olugero lwa Baibuli: Manu n’ennyama y’obugubi
Okuva 16:1-8

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Era nammwe mugumiikirizenga; munywezenga emitima gyammwe: kubanga okujja kwa Mukama waffe kuli kumpi. Temwemulugunyanga, ab'oluganda, mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango: laba, omusazi w'emisango ayimiridde ku luggi." Yakobo 5:8-9

Mu Lingi

Eno wiiki tewali muntu alina bbanja gy’oli. Buli lw’owulira ng’oyagala okusaba omuntu ekintu kyonna, tokikola. Buli lwe weewala obutasaba mmere, bintu, budde oba obuyambi; ob’owangudde ekyonoono kino.

Essomo 6

Ekisa vs. Okugerageranya
Olugero lwa Baibuli: Kabaka Sawulo ne Dawudi
1 Samwiri 18:5-6

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Naye buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe; alyoke abeere n'okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala." Abaggalatiya 6:4

Mu Lingi

Weefunire obupiira 20 ku ntandikwa ya wiiki. Buli lwe weesanga nga weegerageranya ku bantu abalala, weggyeeko akapiira kamu. Kino kitwaliramu Facebook n’ebifo ebirala byonna wetwegerageranyiza ku bantu abalala. Bwe kiba kyetaagisa, va ku Facebook okumala wiiki nnamba.

Essomo 7

Ekisa vs. Obulimba
Olugero lwa Baibuli: Peetero yeegaana Yesu
Matayo 26:31, 69-75

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Saatuulanga wamu na bantu abataliimu; So ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa." Zabbuli 26:4

Mu Lingi

Eno wiiki genda eri omuntu gwe walimba omubuulire amazima. Weetonde olw’obulimba era omusabe ekisonyiwo. Buli lw’oddayo n’oyogera amazima oba owangudde ekibi.

Essomo 8

Ekisa vs. Okwesamba
Olugero lwa Baibuli: Luusi ne Nawomi
Luusi 1:8-22

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kiri mu buyinza bw'omukono gwo okubikola." Engero 3:27

Mu Lingi

Funa omuntu gw’oyamba naddala nga "si kizibu kyo". Wa masiikiini w’okuluguudo, oba omwana ku ssomero eyetaaga ekkalaamu empya. Kakasa nti si wa luganda lwo era si buvunaanyizibwa bwo oba kibadde tekikukakatako kumuyamba.

Essomo 9

Ekisa vs. Ettima
Olugero lwa Baibuli: Eseza awonya abantu be
Eseza 3-5

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragana mwekka na mwekka." Abaruumi 15:14

Mu Lingi

Taasa omuntu wiiki eno ali mu kuyisibwa obubi omuntu omulala awatali nsonga. Buli lwe tutaasa omuntu omulala tuba tulwanyisa ekibi kino mu mitima gyaffe. Waayo ekitiibwa kyo okutaasa omuntu omulala.

Essomo 10

Obulungi vs. Obutafaayo
Olugero lwa Baibuli: Sodoma ne Ggomola
Olubereberye 18:16-33

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Ayagala okuzirika agwana mukwano gwe okumukola eby'ekisa; Era n'oyo aleka okutya Omuyinza w'ebintu byonna." Yobu 6:14

Mu Lingi

Saba Katonda akwongere okwagala mu mutima gwo eno wiiki. Nonya ekintu ky’oyinza okukolera abalala okwongera okulaga okwagala gye bali. Kyalira obusumba oyige biki bye bakola, weereza mu kifo ekiriisa abanaku, oba laba obutambi obulaga obwetaavu bw’abantu okwetoloola ensi. Weenyigire mu buli kimu ky’osobola.

Essomo 11

Obulungi vs. Obubi
Olugero lwa Baibuli: Kerode ne Yokaana Omubatiza
Lukka 3:18-20, Matayo 14:1-12

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga." Zabbuli 34:14

Mu Lingi

Tunula olabe awali obubi, wa awali omuntu ali mu kulumya munne awatali nsonga. Funa engeri y’okwenyigira mu kuyamba omuntu atalina musango. Osobola okumuyamba okukozesa ekkubo eddala ng’adda awaka, okumuwa ekyemisana, oba okufunayo banno 4 abalala ne babeegattako nga mutambula.

Essomo 12

Obulungi vs. Ebiruubirirwa Eby’okwegulumiza
Olugero lwa Baibuli: Omunaala gwa Baberi
Olubereberye 11:1-9

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka." Abafiripi 2:3

Mu Lingi

Tobaako ky’okola wiiki eno ekyongera ku bumanyifu bwo. Buli omukisa gw’okumanyika lwe gujja, gugaane. Buli lw’okola kino ojja kuba okubye ekibi kino eng’uumi.

Essomo 13

Obulungi vs. Obukyafu
Olugero lwa Baibuli: Yusufu ne Potifali
Olubereberye 39:1-21

Olunyiriri Lw’okujjukira

"Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize n'amaanyi buli kye mwagala eky'obulungi na buli mulimu ogw'okukkiriza." 2 Abasessaloniika 1:11

Mu Lingi

Labirira omutima gwo wiiki eno. Omuntu bw’aba alina ky’akukoze, jjukira nti ye y’asobezza so si ggwe. Buli lunaku ng’oli mu ssaala gamba nti, "Ndi mutukuvu gy’oli, ai Katonda." Bw’oba olina ky’osobezza eri omuntu yenna, saba omuntu oyo ne Katonda ekisonyiwo. Bw’omala saba nti, "Ndi mutukuvu gy’oli, ai Katonda."


Ekitundu 3

Essomo 1

Okukkiriza vs Okusinza Ebifaananyi
Olugero lwa Baibuli: Eryato likwatibwa
1 Samwiri 5:1-12, 6, 7:3

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka.”
Okuva 20:4

Mu Lingi

Funayo omukolo oba ekikolwa kyonna OGAANE okukyenyigiramu kuba kirimu okusinza ekitali Katonda. Eyinza okuba ennono y’okuggyamu engato, oba ebijaguzo, omuzannyo oba obutagula bimuli ng’abalala babiguze.

Essomo 2

Okukkiriza vs Obutali Bwesimbu
Olugero lwa Baibuli: Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego
Danyeri 3:1-21

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; naatambuliranga mu mazima go: Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.”
Zabbuli 86:11

Mu Lingi

Funa akadde wiiki eno oyatule mu lwaatu ku ssomero oba mu kitundu kyammwe nti oli Mukristaayo era okkiriza Yesu Kristu. Oluvannyuma kolayo akabaga akatonotono olw’okuba nti obadde mwesimbu yadde wabaddewo abakutadde ku bunkenke.

Essomo 3

Okukkiriza vs Okusikattira
Olugero lwa Baibuli: Katonda ayita Samwiri
1 Samwiri 3:1-21

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa, kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika.”
Abaebbulaniya 11:1

Mu Lingi

Saba Katonda ayogere naawe wiiki eno era okulagire eky’okukola. Beera nga weeyigiriza okumugondera amangu ddala nga tosikattidde. Singa weerabira n’otamwanukulirawo, musabe akwongere akalimu akalala.

Essomo 4

Okukkiriza vs Obujeemu
Olugero lwa Baibuli: Abakessi mu Kanani
Okubala 13:1-3, 17-33, 14:1-11

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Musa n'agamba nti Kaakano musobeza ki ekiragiro kya Mukama, kubanga tekiibe na mukisa?”
Okubala 14:41

Mu Lingi

Londa emirimu 2 okuva ewa Katonda egy’okukola wiiki eno. Ekisooka kibeere ekyo Katonda kye YAKUGAANA okukola era ekyokubiri kibeere ekyo Katonda kye yakugamba okukola. Gondera Katonda mu bintu bino byombi osobole okuwangula obujeemu.

Essomo 5

Okukkiriza vs Okumma
Olugero lwa Baibuli: Ibulayimu ne Isaaka
Olubereberye 22: 1-18

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya.” Abaebbulaniya 11:6

Mu Lingi

Waliwo ekintu kyonna Katonda ky’akugamba okuvaaka wiiki eno? Twala akadde okirowoozeeko era omusabe akuwe obuvumu okukivaako okumala akaseera. Ayinza kuba caayi, Facebook oba emmere gy’osinga okwagala. Okuwangula olulwana luno salawo okukivaako okumala wiiki nnamba.

Essomo 6

Okukkiriza vs Obuteesigika
Olugero lwa Baibuli: Nuuwa n’eryato
Olubereberye 5:32, 6:1-22, 7:1-12

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Naye muntu alyogera nti Ggwe olina okukkiriza, nange nnina ebikolwa: ndaga okukkiriza kwo awatali bikolwa byo, nange olwebikolwa byange ndikulaga okukkiriza kwange.”
Yakobo 2:18

Mu Lingi

Londa ekintu mu bulamu bwo ky’ogenda okubeeramu omwesigwa. Funa ekintu ky’ogenda okukolera Katonda olunaku lumu mu wiiki eno era okakase nti oli mwesigwa mu kyo. Bw’okimaliriza funayo ekirala era osalewo olunaku lw’ogenda okukikola. Kakasa nti otuukiriza ekisuubizo kyo.

Essomo 7

Okukkiriza vs Okubuusabuusa
Olugero lwa Baibuli: Yesu alabikira Tomasi
Yokaana 20:24-31

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Yesu n'amugamba nti Kubanga ondabye, kyovudde okkiriza; balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.”
Yokaana 20:29

Mu Lingi

Salawo okukkiriza Katonda mu kintu kye yakusuubiza yadde kiringa ekitasoboka. Gamba Katonda nti oli mwetegefu okulinda mpaka nga amalirizza okutuukiriza ekisuubizo kye. Okulaga obumalirivu bwo, genda osimbe mu lukalala lw’abantu w’otalina kubeera! Wandiika eddakiika mmeka z’omaze ng’oyimiridde mu lukalala luno era otegeeze omutendesi wo.

Essomo 8

Obuwombeefu vs Enjawukana
Olugero lwa Baibuli: Ibulayimu ne Lutti baawukana
Olubereberye 13:1-18

Olunyiriri Lw'okujjukira

“N'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana.”
Abaefeeso 4:2

Mu Lingi

Leka munno awangule singa muba temukkaanyizza ku nsonga. Oyinza okulemererwa okukkanya n’omuntu naye weewale okuyomba naye ku nsonga eyo. Muleke agende n’ekyo ky’akkiririzaamu.

Essomo 9

Obuwombeefu vs Ennono
Olugero lwa Baibuli: Obuyonjo n’obukyafu
Matayo 15:1-20

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katonda: era nga nange bwe nsanyusa bonna mu byonna nga sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi; balyoke balokoke.”
1 Abakkolinso 10:32-33

Mu Lingi

Salawo okuba ow’ekisa mu kifo ky’okulemera ku nnono zammwe. Okugeza, salawo okugumiikiriza embeera omuntu gy’alimu n’ensonga lwaki amenye ennono era oleme kukyogerako. Kakasa nti toyisa bubi muntu yenna era teweemulisaako ttaala bantu kukulaba.

Essomo 10

Obuwombeefu vs Obukaawu
Olugero lwa Baibuli: Kayini ne Abiri
Olubereberye 4:1-16

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Okukaawa kwonna n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana n'okuvuma bibavengako, awamu n'ettima lyonna.”
Abaefeeso 4:31

Mu Lingi

Funayo omuntu gwe wanyiigira omusonyiwe. Funa akadde mu ssaala oyatule nti, “Nkusonyiye.”

Essomo 11

Okwegendereza vs Okukemebwa
Olugero lwa Baibuli: Yesu akemebwa
Matayo 4:1-11

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.”
1 Abakkolinso 10:13

Mu Lingi

Lwanyisa era owangule ekikemo kimu. Bwe kiba kisoboka naawe kozesa ebyawandiikibwa nga Yesu bwe yakola. Fuga obwagazi bwo era tokkiriza kugwa mu nsobi.

Essomo 12

Okwegendereza vs Okulimba
Olugero lwa Baibuli: Yakobo abba omukisa gwa Esawu
Olubereberye 27:1-36

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Olulimi olulimba lukyawa abo be lwafumita; N'akamwa akanyumiriza kaleeta okuzikirira.”
Engero 26:28

Mu Lingi

Buli muntu ayogera obulimba ne bwe kaba katono nnyo. Jjukira omuntu gwe walimba ku ntandikwa y’omwaka guno era ogende gy’ali omubuulire amazima era omwetondere.

Essomo 13

Okwegendereza vs Obugayaavu
Olugero lwa Baibuli: Abazimbi abagezi n’abasiru
Matayo 7:24-27

Olunyiriri Lw'okujjukira

“Kale amanya okukola obulungi n'atakola, kye kibi eri oyo.”
Yakobo 4:17

Mu Lingi

Lwanyisa obugayaavu wiiki eno ng’oyita mu kukola ekintu ky’otayagala kukola. Kakasa nti okimaliriza era owe obujulizi eri mukwano gwo.