Mu Bimpimpi

1 Kkiriza Katonda

Enkambi ya Wansi
Ebirooto bya Yusufu bivumirirwa
(Olubereberye 37:2-11)

Olunyiriri lwa Baibuli

"Era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya." Abaebbulaniya 11:6

2 Weesige Katonda

Enkambi y'Akagga Akannyogoze
Yusufu abonyaabonyezebwa
(Olubereberye 37:12-35)

Olunyiriri lwa Baibuli

"Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaalung'amyanga olugendo lwo." Engero 3:5-6

3 Weereza Katonda

Enkambi y'Embaawo
Yusufu aweereza mu nnyumba ya Potifali
(Olubereberye 37:36 39:1-6)

Olunyiriri lwa Baibuli

"Omuntu bw'ampeereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy'anaabanga: omuntu bw'ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa." Yokaana 12:26

4 Suubira mu Katonda

Enkambi y'oku Muzira
Yusufu yeerabirwa mu kkomera
(Olubereberye 39:7- 40:23)

Olunyiriri lwa Baibuli

"Emmeeme yaffe erindiridde Mukama: Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe." Zabbuli 33:20

5 Weebaze Katonda

Entikko
Ebirooto bya Yusufu bituukirira
(Olubereberye 41:14-40, 41:53-57, 42:1-6)

Olunyiriri lwa Baibuli

"Ndikwebaliza mu kibiina ekinene: Ndikutenderereza mu bantu abangi." Zabbuli 35:18