Okutegeka

VBS Ennyangu

Tukwanirizza mu "Olugendo Olutaliiko Kkomo", VBS ennyangu okutegeka n'okukola. Funa bufunyi lunaku lwa mwezi, okung'aanye bannakyewa, otimbe ebipande mu kitundu kyo, ojja kuba ng'oli mwetegefu okutandika!

Omwaka guno tiimu ya "Abaana Kikulu" yakyalira VBS ez'enjawulo mu mawaga agawera okulaba enkyukakyuka mu masomo amakanisa zegandiyagadde. Agamu ku makanisa mu India gaasaba okwongeramu eby'okukola n'okwongerayo obudde abaana bwe bamala mu VBS. N'olw'ekyo, twayongeddemu sitenseni enddala bbiri nga mwe muli sitenseni y'obuminsani ne sitenseni ya Baibuli Yusufu mwajjira okukyala! Zijja kuba sitenseni nnyangu za kukola era zijja kwongera okunyumirwa n'okuyiga mu VBS n'okukwongera emisomo egiwerako okuwanvuya VBS yo.

Okusaba okulala kwali kwa kwongera eby'okukola mu mpapula z'abayizi. Tuli basanyufu okuba nga twongeddemu obulimu 5 obw'enjawulo mu kitundu ky'olupapula! Kino kijja kwongera abayizi bo eby'okukola ku kasente akatono ennyo.

Bw'osalawo okukozesa enkola y'okwetoloola oba ey'ekibiina ekya bulijjo, waliwo eby'okukola bingi ebijja okunyumisa VBS yo era ekkanisa yonna ejja kusobola okuyiga "okuzuula obulamu bwabwe nga bayita mu kububuza".

Katemba

Katemba ngeri nungi ey'okwanjula buli ssomo ly'olunaku n'okwanguyiza abayizi okusembeza mu bulamu bwabwe ebyo bye baba basomye. Tukusaba okozese abazannyi bebamu buli lunaku era babeere mu byambalo byabwe ssabiiti nnamba. Basobola okukyalira sitenseni okubuuza ku bayizi era nebekubya ebifaananyi nabo ng'olunaku bwe lutambula.

Mu katemba w'omwaka guno, Kamyu ali mukuyiga omuzannyo gw'okuseerera ku muzira gwe bayita "skiing" ate nga Ngabi yemutendesi. Ekigendererwa kyabwe kya kugenda mpaka ku ntikko y'olusozi baseerere okuva eyo, naye Kamyu alina okutandikira wansi w'olusozi agende ng'ayiga mpolampola omuzannyo guno. Mu buli katemba, Kamyu alina okuyiga essomo ng'abaana lye bali mukuyiga. Okusinziira nti Kamyu alina okuseerera n'okugwa mu buzannyo obumu, kakasa nti olonda munnakatemba omuto era ow'amaanyi okuzannya nga Kamyu.

Enkola ya VBS ey'okwetoloola

Eno VBS erimu okwetoloola sintenseni ssatu buli kiseera. Kino kitegeeza nti abayizi obaawulamu ebibinja bisatu, ebibinja bino nebitambula mu sitenseni z'emirimu ssatu. Buli sitenseni etwala eddakiika 20-40 era eddibwaamu emirundi esatu okusobozesa buli kibinja okugendako mu sintenseni zonna buli lunaku.

Abayizi bo baawulemu ng'osinziira ku myaka gyabwe nga bwe tutera okukola mu mpapula z'abayizi:

  • Ekyangu (Ab'emyaka 4-6)
  • Ekya Wakati (Ab'emyaka 7-9)
  • Ekikalubo (Ab'emyaka 10-12)

Tugamba nti kozesa ab'emyaka 13 n'okudda waggulu nga bakiyambi bo mu VBS. Naye, olupapula lwa "Ekikalubo" lujja kunyumira buli mwana omukulu nga kw'otadde n'abantu abakulu. Osobola okukuba oluyimba mu kadde k'okukyusa sitenseni wasobole okubaawo essanyu n'amaanyi ng'abayizi bakyusa okuva ku sintenseni emu okudda ku ndala.

Enkola y'ekibiina ekya bulijjo

Bw'oba toyagadde kukozesa nkola ya kwetoloola , waliwo enkola ey'ekibiina ekya bulijjo gy'osobola okukozesa mu VBS yo. Enkola eno erina omugaso ogw'okwokutwala akadde akawanvuko singa oba wetaaga VBS empanvu. Wabula, yetaaga abasomesa abawera kuba buli kibinja kyetaaga munnakatemba azannya nga Yusufu n'abasomesa abalina okuyiga emirimu egy'enjawulo.

Abakozi

Bw'obeera ne tiimu y'abakozi ennene VBS enyumirannyo buli alimu. N'olw'ekyo, emirimu tugigabanyizzaamu okusobola okuyingiza abantu abawera. Bw'oba okozesa enkola ey'okwetoloola, ojja kwetaaga:

Dayirekita wa VBS 1
Akulembera ennyimba 1 (n'abalala abamuyambako mu mazina)
Omubuulizi w'essomo ekkulu 1
Bannakatemba b'akazannyo 2 (Ngabi ne Kamyu)
Abakulembeze b'obubinja 6, 2 ba buli kibinja ky'emyaka (bano batambula n'abayizi ku buli sitenseni)

Sitenseni:
Ab'oku Sitenseni ya Baibuli 2 (omukwasaganya 1, munnakatemba wa Yusufu 1)
Omukwasaganya w'ekibiina 1 (akola ku mpapula z'abayizi)
Omukwasaganya w'eby'emikono 1
Omukwasaganya w'eby'okulya 1
Omukwasaganya w'eby'emizannyo 1
Omukwasaganya w'emirimu 1

Enteekateeka eya bulijjo ( essaawa 6)

Essaawa y'ekibinja ekiggulawo (essaawa 1 ½)
Eddakiika 30 Okusaba: Kozesa essomo ly'olunaku ekkulu
Eddakiika 30 Ennyimba: Kozesa ennyimba z'okusinza ne CD ya VBS
Eddakiika 15 Katemba wa Ngabi ne Kamyu (ayamba okwanjula essira ly'olunaku)
Eddakiika 15 Yanjula essira n'olunyiriri lw'olunaku mulyoke mugende mu kibiina
Obudde bw'ekibiina (essaawa 1 ½)
Eddakiika 15 Omusomesa n'omugenyi "Yusufu" bagabane n'ekibiina (okuva mu sintenseni y'olusozi lwa Baibuli)
Eddakiika 15 Mukole obulimu bw'ekibiina ne Yusufu (okuva mu sintenseni y'olusozi lwa Baibuli)
Eddakiika 45 Empapula z'abayizi (okuva mu sintensi y'ekibiina ky'okuseerera )
Eddakiika 15 Okukuba akalulu (okuva mu sintensi y'ekibiina ky'okuseerera)
Essaawa y'eby'okulya/Kunywa caayi (eddakiika 30) (okuva mu sitenseni ya woteeri y'oku ntikko)
Obudde bw'ekibiina (essaawa 1 ½)
Eddakiika 20 Okuyiga ebikwata ku mirimu gy'obuminsani (okuva mu sitenseni y'eng'endo z'obuminsani)
Eddakiika 30 Emirimu gy'obuminsani (okuva mu sitenseni y'eng'endo z'obuminsani)
Eddakiika 40 Essaawa y'eby'emikono (okuva mu sitenseni y'eby'emikono by'akayumba)
Essaawa y'eby'emizannyo (Eddakiika 30) (okuva mu sitenseni y'eby'emizannyo ebinnyogoze)
Essaawa y'ekibinja ekiggalawo (eddakiika 30)
Eddakiika 15 Ennyimba
Eddakiika 15 Okwejjukanya ebibadde mu lunaku n'ebirango by'enkya