Sitenseni Ez'okwetoloola

Akabonero ka Olusozi lwa Baibuli Olusozi lwa Baibuli

Mu sitenseni eno, tuyise Yusufu ajje akyalire VBS yo! Funa omu ku bakulembeze ayambale nga Yusufu okuva mu Misiri, era abeere ng'abuuza abayizi n'okubanyumiza olugero olukwata ku bulamu bwe buli lunaku. Yusufu bw'amaliriza, omusomesa amwebaze, ayogereyo obugambo obutonotono amale akulembere abaana mu kalimu.

Obudde bwo bwe buggwayo, abaana bakulembere mu kukuba akalulu. Timba ekipande ky'akalulu ku kisenge. Yanjula ensonga ebbiri ez'olunaku era onnyonnyole ensonga zino nga tolaga eriwa entuufu oba enkyamu. Leka abayizi berowooleze era bakube akalulu. Basobola okussa omukono ku kipande ekiri ku kisenge oba akapapula akaliko ggaamu.

Akabonero ka Ekibiina Ky'okuseereraEkibiina Ky'okuseerera

Yanjula omutwe gw'essomo n'olunyiriri lw'olunaku. Gaba empapula z'abayizi era obayambe okuzitegeera. Buli lupapula luliko obulimu butaano obw'okunyumirwa!
Mu maaso g'olupapula kuliko obukunizo bubiri. Ku z'abaana abakulu kuliko akazannyo ak'okuzannya n'omuntu omulala. Leka abaana balonde ow'okuzannya naye era bazannye. Ekiddako, kuzuula bigambo. Ku lupapula lw'abaana abato kuliko ebintu 10 ebikwekeddwa mu kifaananyi kya Yusufu. Bwe bamala okuzuula ebintu bino, bagambe ekifaananyi bakisiige.
Ekiddako, kubikkula olupapula okukola kye tuyita “maze”. Bwe bamaliriza okuyita mu maze, bagisiige okufunamu ekikomo ekirungi eky'okutwala awaka. Ekisembayo, olupapula luzinge era olusibe nga bwe tukulaze osobole okwongera okunyweza olunyiriri lw'okujjukira!

*Ennyanukula y'obukunizo eri mu Akatabo Akagya mu Nsawo.

Akabonero ka Eby'emikono By'akayumbaEby'emikono By'akayumba

Mu sintenseni eno, abayizi bajja kunyumirwa okukola eby'emikono okubajjukiza essomo n'okufuna ekinyuma kye batwala awaka. Engeri z'okukola eby'emikono kwe ziri ku mukutu gwaffe ne mu katabo kabyo. Bw'oba osobola okwokyamu olupapula okuwa buli mwana, awo mujja kukola eby'emikono!

Akabonero ka Wooteri y'oku NtikkoWooteri y'oku Ntikko

Musobola okufumba n'okujjula eby'okulya, caayi oba eky'emisana nga bulijjo. Ebirowoozo byaffe ebikwata ku by'okulya birungi okulya ate nga bisobola okuvaamu akalimu ak'okukola n'abayizi bo. Buli omu mu VBS ajja kunyumirwa okukola ekkooti ya Yusufu eya langi ennyingi okuva mu migaati ate nga tekitwala ssente nnyingi. Kyusakyusa ebyetaagisa ng'okozesa ebiri mu kitundu kyammwe mulyoke munyumirwe enfumba y'eby'okulya bino.

Akabonero ka Eby'emizannyo EbinnyogozeEby'emizannyo Ebinnyogoze

Okuzannya kikulu mu bulamu bw'omwana n'olw'ekyo okussa eby'emizannyo mu VBS ky'amakulu. Londako omuzannyo gumu oba ebiri mugizannye. Mukozese balaafu buli awasoboka osobole okuwa VBS yo obunnyogovu. Munyumirwe!

Akabonero ka Eng'endo Z'obuminsaniEng'endo Z'obuminsani

Tukwanjulira enteekateeka empya, "VBS etaliiko nsalo" ekkanisayo mw'esobola okwetaba okuyamba abaana mu mawanga amalala okufuna VBS. Tulina essanyu okukuleetera sitenseni y'obuminsani abayizi bo mwe basobola okuyiga ebifa ku ggwanga eddala nga bwe benyigira mu kuleetawo enkyukakyuka. Tukoze obutabo bubiri obukwata ku mulimu guno, buli kamu nga kakwata ku ludda lumu olw'ensi. Abayizi bo bayinza okuteeberezaamu nti batambula okugenda ku ludda luli olw'ensi okuyiga eby'obuwangwa, ennimi, ebyetaago n'okulaba butya VBS bw'eyinza okufaanana. Abaana okuva mu Latin America bajja kuba nga bayiga ebikwata ku India ate abava mu maserengeta ga Asia bajja kuba nga bayiga ku by'amaserengeta ga America.

Mu ttu ly'omulimu guno mulimu ebifaananyi by'eggwanga eryo, empapula z'abayizi eza VBS mu nnimi ez'enjawulo n'ensawo y'okusonda ssente z'omulimu guno buli lunaku.
Tuukirira ow'oluganda Kristina Krauss ku kristina@childrenareimportant.com okufuna obubaka obukwata ku wwa woyinza okuweereza obuyambi buno okwenyigira mu "VBS etaliiko nsalo". Tusiima buli buyambi bwonna kuba ebyetaago bingi era tetusobola kubimala ffeka. Osobola okukozesa sitenseni eno okututegeeza ku mulimu ogutambula mu nzikiriza yo era n'oweereza obuyambi bwo eri ekitebe kyammwe okutambuza omulimu ogwo.