Okutimba

Fuula ekkanisa yo ensi ey'ebyewuunyo mu biseera by'obunnyogovu.

Osobola!

Yadde mubeera mu ggwanga elitafuna muzira, musobola okwefuula nti kaseera ka bunnyogovu. Abaana bajja kwagala nnyo okuyingira mu nsi endala!

Sigala ng'onoonya ebirowoozo ebirala eby'okunyiriza VBS yo!

 

 

Aquí ves el frente de la nevada - huata en el piso con la pared chiquita de "nieve" como una nevada para el escenario.Engeri y'okukola olubalama lw'omuzira

Mu mitendera mitono ddala, kyusa ekkanisa yo abaana babeere ng'abayingira mu nsi endala. Wetaaga ekibookisi, empapula oba langi enjeru okubiika ekibookisi ne ppamba alinga olugoye. Kola embalama bbiri lumu lwa buli luuyi lwa siteegi.

Tandika n'ekibookisi.

Taggulula oludda lumu olw'ekibookisi okisse ku ttaka ng'ekisenge ekimpi.

Kwasiza empapula ku ludda lwa wabweru olw'ekibookisi oba kisiige langi enjeru.

Oludda luno lwonna lusiige oba olubikke waleme kubaawo langi ya kitaka erabika.

Sibira ku kibookisi ono ppamba alinga olugoye kifaanane ng'ekigonda. Olugoye lwa ppamba wansi luleke nga lukwekweya ku ttaka okuwa ekifaananyi ky'entuumu y'omuzira.

Tekyetaagisa kubikka oludda lw'ekibookisi olwokubiri singa kiba kigenda kukozesebwa ku siteegi

Maliriza okussaako olugoye lwa ppamba okubikka oludda lwonna.

Funayo olugoye lwa ppamba olulala olunene olwale ku ttaka. Kati kwata ekibookisi ky'osabise waggulu okiwetemu nga bwe tukulaze omale okituuze ku lugoye luno. Awo ojja kulaba ekifaananyi ky'olubalama lw'omuzira

Okwongera okufuula olubalama luno olwa ddala, olugoye olwa ppamba lwe wayaze ku ttaka lusike lukweye okuva ku siteegi lukoone wansi eno abantu gye batuula.

Wano osobola okulaba olubalama lw'omuzira lwe twakola okuva mu kibookisi nga tugoberera emitendera egyo waggulu. Bannakatemba basobola okutambula mu maaso n'emabega w'olubalama okwongera okulufaananya ng'olwa ddala (3D). Kola embalama bbiri, lumu lwa buli ludda lwa siteegi.

 

 

Ebirowoozo by'okutimba ebirala

Koona ku bifaananyi okubigezza birabike bulungi.

Zinga olupapula emirundi egiwera omale osaleko obuntundutundu ebbali waalwo. Bw'omala luzingulule okulaba obutundutundu bw'omuzira. Kola engeri endala ez'enjawulo ozitimbe okwetoloola ekkanisa. Olupapula oluwewuka lwe lwangu okukozesa naye n'empapula eza bulijjo zisobola okukola.

Kolera buli muyizi kaadi y'erinnya okuva mu katabi k'omuti.

Tunga obupiira bwa ppamba n'akawuzi okukola obuguwa. Kati obuguwa "bw'omuzira" buno butimbe okwetoloola ekkanisa.

Kola eby'okutimba ebizingulukuka nebiba ng'ebitonnya okuva mu mpapula obiwanike waggulu mu kkanisa.

Kozesa bbaaluuni eziwera okutimba ku mulyango gw'ekkanisa abaana kibasoboze okwefuula nti bayingira mu nsi ey'ebyewuunyo mubiseera by'obunnyogovu.

Timba ebisenge byonna ng'okozesa empapula z'ebyemikono enjeru oba eza bbululu era otimbe obutundutundu bw'omuzira buli wamu.

Ssabbuuni W'omuzira - Muyinza okuba nga temulina muzira gwa ddala naye osobola okukola ebintuntu ebiringa ebyovu. Ojja kwetaaga kye tuyita "microwave" n'ekitole kya ssabbuuni ow'ekika kya "Ivory" (kino ekika kyokka kye kikola). Ssabbuuni muggye mu kaveera omuteeke mu bbakuli egenda mu microwave. Bugumya okumala eddakiika bbiri oba ssatu ng'abayizi balaba ssabbuuni bw'azimba okufuuka ekire ky'omuzira. Kireke kiwole nga abaana tebannatandika kukizannyisa.

 

 

Eky'emikono Ky'olusozi - Kola eky'emikono ekiriko olusozi, amakubo, emiti n'ebilala ekilaga abayizi nga bwe batambula okutuuka ku ntikko. Wandiika essira lya buli lunaku ku bifo eby'enjawulo ku kye'emikono kino kisoboze abayizi okulaba nga bwe bazze batambula okuva enteekateeka lwe yatandika mpaka ku nkomerero yayo nga batuuse ku ntikko.

 

Kola ensozi eza wamu n'abayizi bo. Buli muyizi azinge olupapula okukola olusozi. Kozesa ggaamu okusiba olupapula ng'omaze okuluzinga era wansi osaleyo okusobola okugolola entobo y'olusozi. Awo buli mwana aleete olusozi lwe musobole okuzigatta. Ensozi empanvu muziteekeko omuzira ku ntikko.

 

 

Ssaawo ekifo abaana webagenda okwekubiza ebifaananyi.

 

 

Kozesa ebirowoozo bino okutimba ekkanisa yo olwa VBS:

  • Obutundutundu Bw'omuzira Obw'ebipapula
  • Obuguwa obuliko obutaala obwaka
  • Bbaaluuni eza bbululu n'enjeru
  • Ebitambala by'oku mmeeza ebyeru
  • Ensansa eza bbululu n'ebyeru
  • Ensozi z'ebipapula ku bisenge
  • Emikebe egya bbululu omuli obutundutundu bw'omuzira obwa vinyl
 

 

Okumeza Obutangalijja ku By'okutimba

Eby'okutimba byo eby'obudde bw'obunnyogovu biteekeko ebitangalijja nga eky'okulabirako kino eky'omussajja w'omuzira.

Ebyetaagisa:
Amazzi
Ejjiiko 3 eza "borax" mu buli kikopo ky'amazzi

Endagirio:

  • Jjuza omukebe n'amazzi agatokota, yiwamu borax omale otabule. Tekirina buzibu singa borax omu atuula ku ntobo y'omukebe.
  • Eky'okutimba kisibe ku kkalaamu oba ejjiiko ng'okozesa akawuzi. Eky'okutimba kisse mu mukebe guno ogulimu amazzi ne borax. Kakasa nti tekikoona ku mabbali oba ku ntobo y'omukebe.
  • Omukebe guteeke ebbali webatagenda kugutawaanya. Mu ssaawa nga bbiri, obutangalijja bujja kutandika okumera ku ky'okutimba. Kirekeemu essaawa endala eziwera oba okisuzeemu okusobozesa obutangalijja obulala okumera. Akaseera bwe katuuka, kiggyemu okiteeke ku kagoye kikale okumala essaawa ng'emu.
  • Leeta zino giraasi ezigezza olage abayizi obutangalijja!

 

 

 

 

Eby'okutereka ku Bwereere

Sigala ng'onoonya ku mukutu gwa yintaneti ebirowoozo ebirala eby'okunyiriza VBS yo!

Obutundutundu Bw'omuzira obwa Vinyl

Obutundutundu Bw'omuzira obwa Vinyl

Sitiika z'obutundutundu bw'omuzira obw'okussa ku madinisa g'ekkanisa! Funa wano engeri yabwo osabe babukukubire mu kitundu kyo oba bwekubire ku lupapula oluliko ggaamu emabega omale obusalemu.

Obutundutundu Bw'omuzira Obulengejja

Obutundutundu Bw'omuzira Obulengejja

Kozesa engeri zino okukolera ekkanisa yo obutundutundu bw'omuzira obulengejja.

Eby'okutimba Ebitonnya

Eby'okutimba Ebitonnya

Kola eby'okutimba ebizingulukuka nebiba ng'ebitonnya obitimbe ku siteegi ye kkanisa! Kozesa empapula eza bulijjo oba tunula ku ngeri yaffe okole ebinene ddala!