Olugendo Olutaliiko Kkomo

Tukwanirizza mu lugendo olutaliiko kkomo!

Emirundi emmeka gye wali obuuzizza omwana, “Kiki ky’oyagala okubeera ng’okuze?”

Ffena tulina ebirooto by’ekyo kye twagala okubeera. Tulina essuubi nti Katonda ajja kutukozesa okukola ekintu ekinene. Kino kiyinza okubeera mu masomero, mu makanisa gaffe, mu by’obufuzi, mu malwaaliro oba mu kuweereza ensi mu kitongole ekitali ky’amagoba. Katonda yetaaga abantu abalina obusobozi mu buli kifo era tusuubira okubeera abamu ku bbo. Nga naffe bwe tuloota nti Katonda ajja kutokozesa, n’abaana abali mu makanisa n’ebitundu byaffe bwe batyo bwe baloota. Basuubira era nebaloota kiki kye bagenda okuba mu biseera ebijja. Baloota nti Katonda alina entegeka ennene eri obulamu bwabwe.

Amawulire amalungi gali nti Katonda alina entegeka ez’amaanyi eri obulamu bwabwe.

Amawulire amabi gali nti bangi mu bbo bajja kukola ensobi era basubwe ebinene Katonda by’abategekedde.