Ebitukwatako

Abaana KikuluKiki Kye Tuli

Abaana, emisomo n'obutendesi, ebikozesebwa“Abaana Kikulu” kitongole ekitabaganya enzikiriza era ekikolagana n'amakanisa nga kya tandikibwawo mu 2005. Essira lyaffe liri ku busumba bw'abaana mu nsi yonna naddala ku bikozesebwa.

Tulina ebintu bibiri ebitwawula ku bitongole ebirala. Ekisooka, tuteeka ebikozesebwa byaffe byonna ku mukutu gwa yintaneti nga bya bwereere. Bye tuba tukubye ku mpapula, tubitunda ku bbeeyi eggyayo buggya ssente zetutaddemu era tetugaana muntu kwokyamu kopi. Ensoga eyokubiri, tetutera kudding'ana bikozesebwa wabula tufulumya ebipya ebya ssande sikuuru n'amasomo ga VBS buli mwaka.

Tusangibwa ssaawa 1 wabweru wa Mexico City. Emyaka ekkumi egiyise, tubadde tukola ebikozesebwa bya Latin America wansi w'erinnya ly'obusumba “Los Niños Cuentan”. Mu 2014, twasalawo okugaziya ekigendererwa kyaffe okutwaliramu amawanga amalala nga tukozesa oluzungu. Mu 2015, twatandika okuvvuunula ebikozesebwa bino mu Portuguese, Hindi, Telugu, Kannada, Malayalam ne Marathi. Kati tulina abakozi 20 nga bakola mu kutondawo emisomo, okuvvuunula, okukuba ebitabo, oba kitunzi. Tuli tiimu y'ab'oluganda mu Kristu abakolera awamu okukuweereza.

Oli wano okukyusa obulamu; ffe tuli wano kukuyamba.

Okuwuliziganya Naffe

Otumba, Mexico State (Kumpi ne Mexico City) 
Koodi y'eggwanga: (52)

592-924-9041
info@childrenareimportant.com

Edduka lyaffe ely'ebitaboObusumba Bwaffe

Amakanisa mangi mu nsi gakola okutuukirira omulembe ogujja nga tegalina bikozesebwa bimala. Byonna ebiri ku mukutu guno bya bwereere okutereka ku kompyuuta, okwokyamu, okukozesa n'okusaasaanya. Mazima, bya BWEREERE!

Buli mwaka tuwandiika era ne tufulumya ebikozesebwa ebipya. N'olwensonga eyo osobola okukozesa ebiriwo leero nga teweeraliikirira lwa nkya. Omwaka ogujja wajja kubaawo ebipya. Tukuwa ebisanyusa ate nga byangu okukuba ku mpapula. Tewetaaga kutereka buli musomo gwa ssabbiiti kuba amasomo ga ssande sikuuru galimu ebitundu 13. Osobola okutereka era n'okuba ku mpapula ekitabo ky'omusomesa n'eky'abayizi eky'emyaka egiri mu kibiina kyo era emisomo gino gikutwalira ddala okumala emyezi esatu.

Tufuna abagenyi 1000 ab'enjawulo abakyalira omukutu gwaffe buli lunaku nga bafuna gigabayiti 10 ez'emisomo buli lunaku. Bino omugatte bitabo 700 ebiggyibwa ku mukutu gwaffe buli lunaku. Okusinzira ku bino, tuteebereza nti omwaka oguwedde abaana kakadde kamu n'ekitundu baali bayiga ebifa ku Katonda nga bakozesa amasomo gaffe aga VBS ne Ssande Sikuuru. Mukama atenderezebwe!

Olwokuba nti obwetaavu bungi ate n'okukuba ebitabo kutwala ssente, tulina wetukubira ebitabo wano mu Mexico. Tutunda ebitabo ebiri mu Spanish ku bbeeyi ey'okubikuba. Tetuliwano kukola ssente wabula okuwangula omulembe ogujja ku lwa Yesu Kristu. Mu 2014, twakuba era ne tutikka ebitabo eri amakanisa 2500 okuva mu nzikiriza 13. Twakuba ebitabo 150,000 eby'abayizi era tusuubira okutandika okukubira ebitabo mu India mu kaseera akatali ka wala.

Esonga eyokubiri mu kigendererwa kyaffe kwe kutendeka, okuwa ekitangaala n'obukodyo eri abasomesa. Omulimu gwaffe kubazzaamu amaanyi n'okubawa ebikozesebwa kibasobozese okuteeka essira ku busumba bw'abaana. Twagala tubayambe muweereze emyaka egiwera nga temuweddeemu maanyi. Tumanyi obwetaavu obuli mu kusomesa ssande sikuuru, enteekateeka z'ekyenkya n'okugula ebikozesebwa. Kyangu nnyo okuggwaamu amaanyi naye mulimu essanyu lingi mu mulimu guno naddala bw'olaba ebibala mu bulamu bw'abaana. Abasomesa tubandeka nga tukozesa emisomo, obutambi obuyigiriza n'enkung'aana. Essawa zino ebitendeka bikyali mu Spanish naye tunaatera okutondawo ebya India.

Tusuubira nti ojja kusanga wano obuwagizi n'ebikozesebwa. Tukwanirizza ku ChildrenAreImportant.com!