Tuwuliziganye 
Twagala nnyo okuwuliziganya nawe! Ekigendererwa kyaffe kya kukumalira ebyetaago byo mu busumba bw'abaana nga tuyita mu kukuwa ebirowoozo n'amasomo. Ebikozesebwa byaffe bya bwereere okufuna, okukuba ku mpapula, okukozesa, n'okusaasaanya eri amakanisa n'obusumba bwonna nga tewetisse buvunaanyizibwa.
info@childrenareimportant.com
India
Tulina essanyu lingi okuba ng'omwaka guno tutandise okufulumya ebikozesebwa bya VBS ne Ssande Sikuuru mu nnimi za India eziwerako. VBS yaffe esooka “Galaxy Express” tugisuubira okufuluma mu Luzungu, Hindi, Telugu, Kannada, Malayalam, ne Marathi. Era tukola bukubirire okufulumya n'amasomo ga Ssande Sikuuru mu nnimi zino. Ebitabo bino byonna osobola okubifuna wano ku mukutu gwaffe.
Bw'oba oyagala okukolagana naffe oba wetaaga amawulire agasingawo, osobola okutuwuliza ku: www.childrenareimportant.com
info@childrenareimportant.com
Fuuka Omusaasaanya
Ekilubirirwa kyaffe kya kufulumya ebikozesebwa ku bbeyi ensaamusaamu eri obusumba bw'abaana mu nsi yonna. Twasooka kubigabira bwereere okumala emyaka ebiri naye netulemererwa okusigala nga tubigaba mu bungi engeri obwetaavu bwa byo bwe bwali bweyongedde. Kati tubitunda kubbeyi y'okubifulumya n'okubitikka. Bw'oba wandiyagadde okufuuka omusaasaanya n'okukolagana naffe mu kufulumya ebikozesebwa bino mu kifo kyo, tuli betegefu okukuyamba. Tewetagisa kutusaba lukusa okubisaasaanya naye bw'oba oyogedde naffe tuyinza okukufunira yo obuyambi obutonotono obutali bwa nsimbi. www.childrenareimportant.com
info@childrenareimportant.com
Latin America
Tusangibwa mu Mexico era twatandika okuwandika emisomo mu Spanish mu 2005. Ekitebe kyaffe ekikulu kiri kumpi ne Mexico City: 01-800-839-1009 oba 01-592-924-9041 pedidos@losninoscuentan.com
Tutendereza Katonda okuba nga tusobodde okuwa ensi zino ebikozesebwa: Mexico, Columbia, Argentina, Peru, Venezuela, Chile, Guatemala, Ecuador, Cuba, Bolivia, Dominical Republic, Honduras, Paraguay, Nicaragua, El Salvador, Costa Rica, Panama, Puerto Rico, Spain ne Uruguay!
Amakanisa mangi gafuna ebitabo bino okuva ku mukutu gwaffe era negabyekubira, naye tulina edduuka elikuba ebitabo mu Mexico nga ligabira abo abali mu Mexico n'abasaasaanya baffe babiri abali mu Guatemala ne Venezuela. Ebiseera bimunabimu tutikka ebikozesebwa okuva ku dduuka lyaffe lino netubisindika mu nsi endala.
Guatemala: 5929-2602
pedidosguate@losninoscuentan.com